Tiger FM

Ba kansala bagaanyi okukaanya ne mayor wa Nansana municipal council olwakasasiro

22 August 2024, 7:13 pm

Bya Edwin

Wabalusewo obutakanya wakati wo lukiiko lwa bakansala ba Nansana munisipality ne Mayor Regina Bakite nga entabwe evudde ku kya kutandika kuyuwa kasasiro mu kitundu kye Menvu mu division eye Busukuma mu munisipali eye Nansana Wakiso district.

Gyebuvudeko ekitongole kya KCCA kyasaba abakulembeze ba Nansana munisipalityo okubazikako ku kitundu kye Menvu bayuwe yo Kasasiro oluvanyuma lwe njega ye kiteezi okugwawo, Wabula Mayor Regina Bakite ekintu kyabadde tanakiriza nga agamba nti kitundu kya bantu ba Nansana so si banakampala nga nolwekyo tebayinza kukiriza kasasiro ava kampala kumalako bantu be mirembe

Ensonga ensonga eno eresewo okusika omuguwa wakati wa mayor ne bakansala nga ababadde basinga obungi tebakiriziganyiza naye era Speaker wa council ya Nansana Kasozi Hamza nasala egoye erisembyeyo nga bakuyambako aba KCCA okutereka kasasiro.

Wano era bakansala bewunyiza nyo mayor wabwe obutabera na mutima gulumirirwa banauganda nti kuba ensonga ya Kasasiro kati ekwata kubuli munauganda nga nolwekyo kikyamu ogirekera KCCA yokka.