Tiger FM

Abadde RDC w’e Nansana asabye banna Kampala okukolaganira awamu naye okutereeza ekibuga

30 August 2024, 12:30 pm

Bya Walusimbi Saki

Oluvannyuma lw’omukulembeze w’eggwanga lyattu Yuganda, Yoweri Kaguta Museveni okukyusa ababaka be mu zi disitulikiti ez’enjawulo, abadde RDC w’e Nansana Ali Shafik Nsubuga avuddeyo n’awanjagira bannaKampala wamu n’abakulembeze kumitendera gyonna okukolaganira awamu naye balongoose ekibuga.

RDC Shafik Ali Nsubuga.

Shafik eyalinnyisibbwa okuva kubwa RDC e Nansana n’ateebwa kubw’amyuka RCC w’eKampala, okusaba kuno akukoze bw’abadde akwasibwa yaafiisi y’obwa RCC mw’agenda okukkalabiza ejigye.

RDC Shafik ang ayogera ku nkolagana.

Ono era yeebazizza nnyo pulezidenti Museveni okumulinnyisa eddaala, era n’asuubiza okukola obutaweera, okwongera okutereeza embeera y’ekibuga, naddala muby’okwerinda.

RDC Shafik nga yebaza Pulezidenti Museveni.

Bbo abamu ku batuuze b’e Nansana balaze ennyiike olw’okukyusibwa kwa RDC Nsubuga, kyokka nebatendereza enkolagana ennunji gyebabadde balina naye wamu n’eddimu ly’alese akoze okukendeeza obumenyi bw’amateeka mu munisipaali eno.

Abatuuze nga boogera Ku RDC Shafik.

Ali Shafik addiddwa mubigere Lwanga Charlse, abadde Deputy RDC w’e Lwengo.