Ekibiina ky DP kyakuddamu okutereeza enkalala
30 April 2024, 8:09 pm
Oluvannyuma lwolukiiko olwokuntiko 0lufuzi NEC olwatuula nga 19-20 04 2024 mu kibiina kya DP mu kibuga e’Mbale, luno lwayisiza enteekateeka ezenjawulo ekibiina mwekigenda okuyita okulaba nga kiterezebwa olwe byobufuzi ebibadde bikitabangudde. SSabawandiisi we kibiina kino Gerald Sirander asinziiridde ku kitebe kye kibiina kino ku City House mu Kampala nategeeza nti ekibiina kyayisiza enteeka eeka ezenjawulo omuli , okuzza obumu mu kibiina, okuwandiisa ba member be kibiina kino okuva ku kyaalo okutuuka ku national level nga kino oba olyaawo kya kuyamba ko okutereeza ekibiina kino omwaka 2026 wanatuukira.
Sirander ono mungeri yemu alabudde ba member be kibiina kino nti oyo yenna anesigiriza natewandiisa saaako nokuzza enkalala obuja, siwakukirizibwa kwesimba ku kifo kyona.