Abakulembeze Bawaddeyo Obuyinza; batadde akaka ku kiragiro kya pulezidenti.
22 November 2022, 7:12 pm
Bya Masiira Mike
Ba ssentebe B’Obutale bwa gavumenti e 16 mu Kampala olwaleero mu butongole bawaddeyo obuyinza eri ssenkuku wa KCCA Dorothy Kisaka obubajja mu yafeesi zebabaddemu mu butale ng’omukawefube w’okusa munkola ekiragiro kya Pulezidenti kyeyayisa sabiiti ewedde ku lwokusatu eri ababadde bakulembera.
Abakulembeze b’obutale buno e 16 okuli Suzan Kushabe owa St Balikuddembe (Owino Market), Nabukenya Mayi aka Mayi small owa Wandegeya mkt, Grace owa Bukoto mkt, Zibu Ronald owa kasubi mkt n’Abalala okubadde aba katale k’E Nakaseero, Kiseeka , Usafi, Nateete, Namuwongo 1 ne 2 , Kitintale n’obulala bakunganide ku city hall mu kampala mu nsisinkano ne ED wa KCCA Dorothy Kisaka bawaddeyo failo z’ebiri mu butale bwabwe ekiragiro kino wekyagidde wakati mu basinga okukukuluma olwokubatwala nga tebesikidde nakanyebwa songate abamu bategezeza nga bwebajja okuwayo failo zabwe olulala nga bazimaliririza kubanga babadde tebanazimaliriza leero. Bano era bekokodde ekiragiro kya pulezidenti okufuluma obukulembeze bwebabaddemu bwebagambye nti kya nditataganya obutale bwabwe bwebamaze okutereza kuba kati bangi kubakulembeze abakadde bebaddira mu bigere bakomyewo dda okweza obukulembeze nemiddala.
Mu bubaka bwa ED wa KCCA Dorothy Kisaka bano abasiimye nnyo olwobukulembeze bwabwe nabasaba bakimanye nti tebagobeddwa ngabamu bwebakitute wabula bakitegere nti wabaddewo okukyuka mu tteeka lyo’bukulembeze. ED Kisaka agambye nti wakubebuuzako mu kiseera kino ekyokukyusa obukulembeze nabasaba okusigala obumu.
Ye mayor wa Kampala Central Salimu Uhuru Nsubuga alabudde ba ssentebe b’ebitundu omuli obutale buno baleme kweyingiza mu nzirukannya yabwo.
…
…
…