Tiger FM

Gavumenti Eveyo Ennyonnyole bannansi ku bulumbaganyi ku Ba Poliisi Obuliwo Ennaku Zino obweralikiriza!

24 November 2022, 7:10 pm

Bya Masiira Mike Tiger FM

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Eggombolola ya mutaba 11 Nabweru Musawo Ssemwanga yozefu Ssemwezi asabye gavumenti okuvayo mu butongole ennyonyole bannansi ku bikolwa by’Obulumbaganyi  ebisusse ebikolebwa ku basirikale ba poliisi ku siteenseni ez’Enjawulo nebattibwa saako n’okubbibwako emmundu zabwe nga n’Obukyaseembyeyo bwebukoleddwa ku poliisi ye Mbale n’E Nankulabye mu Kampala, ekyeralikiriza ennyo bannansi ku kigenda mumaaso awatali ku nnyonyolwa kutongole.

 

Sipiika SSemwanga Yozefu Ssemwezi bino abyogeredde mu lukiiko  olufuuzi olw’Eggombolola  eno olugaddewo omwaka guno 2022 olwetabiddwamu omumyuka wa Mutuba 11 Nabweru Katumba Edrine,   abatongole, ab’Emiruka, n’Abakulira ebitongole eby’enjawulo eby’Eggombolola eno bwatyo neyennyamira olwobulumbagannyi obususe okukolebwa ku poliisi ekivuddeko n’okugatta ‘’police posts’’ ez’Enjawulo ekireese bangi ku bannansi naddala mu byalo mu bweralikirivu obwetaaga okunnyonyolwa kwa gavumenti. Ono agasseko nti mu biseera bino eby’Ennaku enkulu z’Etwolekedde bannasi naddala mu byalo beralikirivu nnyo olwebikolwa byobubbi naddala obw’Ebisolo n’Emmere songate ‘’police posts’’ wansi ezandibayambyeko zagiddwawo ekyeralikiriza.

 

Ono era akubiriza nnyo abantu ba Kabaka mu ggombolola eno okujjumbira Ekyooto ky’Ebyobulamu ekitegekeddwa nga 1st 12 2022 ku mbuga y’Eggombolola e Nabweru wansi w’Omulamwa gw’Okulwannyisa Ebola, mukenenya,  Covid19 n’Obutabanguko mu maka  nga Beene bweyalagidde.

 

Ye Mutuba 11 Nabweru  Mariam Ndagire mu bubaka bwe bwatise  omumyuka we Katumba Edrine  yebaziza nnyo abakulembeze b’Eggombolola eno okuva ku batongole paka waggulu ko n’Abantu  ba kabaka olwokujjumbira ennyo oluwalo lwomwaka guno bwebawaddeyo obukadde 9,800,000 bwogeragerannya n’Obukadde 6,000,000 bwebawayo omwaka oguwedde.

Mu lutuula luno lwerumu, ye ssabawali w’Omuluka gw’E Wamala Sserwanga Eric alaze obwetavu obwa gavumenti ya ssaabasajja okuvayo nenambika y’Omwaka enambulukufu wansi mu maggombolola olw’Enteekateeka ennungi wansi mu biba bitegekebwa.