Mujje Ebyobufuzi mu Bibiina by’Emyooga.
23 November 2022, 6:14 pm
Bya Masiira Mike
.
Amyuka ssentebe w’olukiiko olukulira ebibiina by’Emyooga mu Nansana Division lu Nansana Division Emyooga Self Help Committee nga luno lwerulondola n’okuwa amagezi ku nzirukannya entuufu ey’Emyooga Kalegeya Kagame Ssepiriyano akubiriza abakulembeze b’Ebibiina by’Emyooga ebyenjawulo mu Nansana Division mu lukiiko lwebabaddemu akawungeezi kano okukuba ttooki mu nzirukannya y’Ebibiina byabwe bwatyo nabakalatira okwewalira ddala enjawukana z’ebyobufuzi, enzikiriza , n’Amawanga.
Ono era bano abakalatidde okwongera obwerufu mu ntambuza y’Emirimu mu bibiina byabwe.
Kalegeya Kagame Ssepiriyano mungeri yemu asabye abakulembeze b’Ebibiina by’Emyooga mu Nansana n’Eggwanga okutwalira awamu okweyambisa Emyooga Self Help Committees okuwangana amagezi ku ntambuza ennungi ey’Ebibiina byabwe olwenkulakulana.
Ye ssentebe w’Olukiiko luno mu Nansana Division Hajji Mohammad Lwembawo akubiriza abakulembeze b’Ebibiina by’Emyooga mu Nansana okuwuliziganya obulungi nebammemba babwe saako nokukiika mu nkiiko waggulu ezibataba ng’Abakulembeze olwokulakulannya ebibiina byabwe.
..
..
..