Tiger FM

OKUJUKIRA OLUNAKU LWAKAWUKA KA’MUKENENYA MUNSI YONNA MU’NABWERU NANSANA DIVISION

2 December 2022, 11:28 am

Bya Waswa Benon.

Wakati nga uganda yegatta kunsi yona okujjukira olunaku lwakawuka kamukenya munsi yonna, olujukirwa buli December nga lumu, Bwire Moses akulira ekibina kyobwananyini ekya peer to peer Uganda, kino nga kiyamba abavuuka okufuka ba agent ebekyunkyuka mubitundu byabwe, asabye abakulembezze bonna mu’Nabweru, Nansana divizoni mu Wakiso district okutandika okukozesa tekinologiya.

Mwami Bwire nga ayogera eri abatuuze bomu Nansasa Division

Kino kibayambeko okusomesa abantu mungeri jebayinza okwewalamu okufuna akawuka akaleeta mukenenya ate era nokwongera okukubiriza abo ababakafunye okwekumira kudagala basobole okuwangala nokubera obulungi. Mungeri yemu ayongedde nokubiliza abantu bonna obutasosola nokusekerera abo ababa bakwatidwa akawuka wabula bongere bakubiriza okwekumira kudagala.