Abagoba Ba Taxi Wamu Nabantu Babilijjo Bakubirizidwa Okukuuma Obutonde
9 December 2022, 12:52 pm
Bya Waswa Benon
Oluvanyuma lw’ebikolwa ebityoboola obutonde bwensi okweyongera gamba nga , abantu okwesenza muntobazi wamu ne okumansa obucupa bwa plastic wamu n’obuveera buli webasanze, bannakyewa abatakabanira obutonde bwensi aba Center for Environment and Climate Action CECA, bavuddeyo nebatalaaga ebitundu bya Nansana lubigi ne Wakiso naddala mu ppaaka za taxi nga balabula n’okusomesa abantu obulabe obuli mu kutyoboola obutonde bwensi.
Bano nga bakulembeddwamu akulira ekitongole kino Muhusin Sserwadda, agambye nti amazzi aganjaalira mu bantu naddala mubitundu bino, kiva kubantu abasuula obucupa ne obuveera buli webasanze era nasaba gavumenti eveeyo ekome kubantu abesenza mu ntobazi.
Mungeri yeemu ye Uthuman kasagga omu kubakungu okuva mukitongole kyekimu, agamba nti amakampuni agakola obucupa gasaanidde okwongera amaanyi munkola eyekuzaayo obucupa buno nebufuulibwemu ekyomugaso.
Ate ye Matha Peduni okuva mu CECA asabye abakyala okubeera ekyokulabirako nga beewala okumansa kasasiro era alabudde abakyala okwewala okufumbisa obuveera olwobulabe obukirimu
Ate bbo abavuzi ba taxi okuli Senono Godfrey wamu ne abakyala abakolera mu park ye Nansana okuli Shadia Nambaziira ne Zahara Nakitende basabye abantu okwewala okwonoona obutonde bwensi.