Mama FM

Eddwaliro lya Kololo litongoza ekyuuma ekimpya

18 March 2025, 4:15 pm

Bya Annet Nakato.
Mukawefuube ow’okwongera okulwanyisa ekirwadde Kya Kokolo muggwanga,eddwaliro elijanjaba Kokolo litongoza ekikyuuma ekimanyiddwa nga molecular imaging and therapy services nga kino kirondoola obulwadde webuli era abajanjabi nebamanya ddagala ki erigenda ku mulwadde Oyo.

Okusinziira ku Dr. Henry Ddungu okuva mu Uganda cancer institute bwabadde awayamu nebannamawulire wakati mukitongoza wali ku cancer institute emulago, asabye bannauganda okukola ebyo ebibewaza abakwatibwa ekirwadde kino nga bagenda kukebera obulamu bwabwe kuba abaakwatibwa ekirwadde kino buli lukya.

Mungeri yemu ye akulira eddwaliro lya cancer institute,Dr.Jackson Oryemu agamba nti waliwo phases ezenjawulo ezitambula naye nga phase esooka ewedde,kyokka NGA nenteekateeka ey,okuzimba pet centre nayo egenda maaso.