Uganda efirwa buwumbi na buwumbi ku misango ejjekusa ku mutimbagano.
27 September 2024, 9:03 pm
Bya Annet Nakato
Uganda efiirwa obuwumbi 15 obwa ssente za Uganda buli mwaka okuyita mu misango egyekuusa kumitimbagano (cyber crime )
Okusinziira ku akulira ekibiina Kya Milima security, Emanuel Shagara,nti ensimbi zino sizokka Uganda zefiirwa wabula efiirwa namanyi geteekamu okukola amateeka gano.
Emanuel Shagara bino abyogeredde mulukungana lwabannamawulire olubaddemu okutongoza omwezi gw’okwekuuma obuzzi bwemisango kumitimbagano (cyber security) olubadde ku ICT HUB mu Nakawa .
Ono gamba nti omwezi guno bagujaguza nga basomesa abantu kungeri gyebayinza okukozesa omutimbagano wamu nebyuma bikali magezi nga tebakozesa balala .
Kumulundi bakwongera okunyigiza enkola Eno mubakyala nga babasomesa kubanga kizuuse nga bebakyasinze okukolebwaako obulumbaganyi kumitimbagano.
Ye Ocero Michael assistant commissioner mu ministry ya ICT agamba nti government yakatekawo computer labs 441 okwetoloola amasomero agenjawulo mu ggwanga nga kino kyakuyambako mukubangula abaana kunkozesa yomutimbagano enungamo ate era nokwenyigira mu kulwanyisa obumenyi bwamateeka obudizibwa kumitimbagano.