Mama FM

Abavubuka bakozze bulungi bwansi, basimye Kabaka

26 July 2024, 1:42 pm

By Byamukama Alozious

Nga amatikira ga Kabaka wa Buganda Ronald Mwenda Mutebi 11 agomulundi ogwa 31 ganateera okutuuka, abavubuka abegatira mu Buganda youth’s council bakkadde kukwataganyiza wamu nabatuuze mu bitundu ebye Bukoto ne kamwakoya okukola bulungi bwansi.

Abavubuka nga bakugamya kasasiro e Bukoto.

Banno nga bakulembedwa ssentebe wabwe Umar Mpima era nga ye councilor wa Bukoto 1, Ddamba Muzamil nabavubuk abalara bagambye nti kabaka abakubiliza okubera abayonjo nga yemu kunsonga lwaaki bavuddeyo okuyonja ekitundu ekyo nga bayoola kasasiro saako okugogola emyala.

Umar mumakati nabavubuka abalala.
Umar’s audio.

Ate ye Mayor wa Nakawa Paul Mugambe nga yomu kwabo abetabye mu kuyonja ekitundu asimye abavubuka kyebakoze wabura nalaga obutalibumativu engeri Gorvement bwetafayo okuwa ekitongole kya Kampala capital city Authority esente ezimala okunganya kasasiro ekiledde obukyafu ekweyonggera mu nakawa ne bitundu ebirinanye ekibuga Kamapla.

Mayor Mugambe.
Mayor Mugambe’s audio.

Okuyonja kuno kwetabidwamu abantu abenjawulo omubadde  omu ku banalulungi w’eby’obulambuzi Najjuma Kurusumu, Ssarongo Ssekitoreko James amyuka akulira e gombolora ya Nakawa nabalala banji.