Hon.Balimwezo asabye aba NEMA obutabeera nakyekubira nga bataasa obutonde.
31 October 2024, 1:14 pm
Bya Annet Nakato.
Omubaka wa Nakawa East Eng.Ronald Balimwezo awuniikiridde bw’agenze e Bugoloobi okulambula Olutobazi olusengejja amazzi agafubutuka mu Myala gy’ekibuga Kampala abakozi b’asanze nga basenda n’okuyiwa Ettaka ne bakamutema nti Olutobazi lwayogerako terukyaliwo mu kifo kino.
Balimwezo era nga ye Minisita wa Kampala mu gavumenti ey’ekisiikirize okugenda e Bugoloobi kidiridde abatuuze mu kitundu kino okumutemyako nga bwewaliwo abayiwa Ettaka mu Lutobazi olusengejja amazzi agayita mu kitundu kino kyebagamba kyandiviirako Amataba singa enkuba enaaba etonnye.
Embeera eno y’ewalirizza Omubaka Balimwezo okwesitula n’agenda e Bugoloobi ku Mpanga Close okulambula Olutobazi oluli mu kitundu kino nga eno asanze Guleeda egenda mu maaso n’okusenda ekifo n’ayambalira abasangiddwawo wakati mu kubasoya ebibuuzo eby’okumukumu lwaki bayiwa Ettaka mu Lutobazi.
Wano Yinginiya asangiddwa mu kifo kino ategerekeseko erya Arthur alabye Omubaka Balimwezo n’ataamye n’akamutema nga luno bwelutakyali Lutobazi nga baafuna Empapula zonna ezetaagisa okuva mu kitongole kya NEMA,KCCA ko n’ekiragiro kya Kkooti ekibawa olukusa okukozesa ekifo kino.
Okusinziira ku mpapula yinginiya Arthur z’awadde Omubaka Balimwezo ekifo kino NEMA yakiwa Majestic Commodities Limited okuzimbako Amayumba agasulwamu nga ekyewuunyisizza Balimwezo.
Wano Balimwezo asabye abannema obutabeera na kyekubiira mu kutaasa Obutonde n’ategeeza nti bwebabanga basengula abanaku abesenza mu Ntobazi nga bwekyali mu Lubigi n’abazimba e Bugoloobi bayimirizibwe.
Wabula ye Yinginiya Arthur akulembeddemu omulimo gw’okuzimba mu kifo kino agamba nti teri nsonga egenda kubayimiriza olw’ensonga nti luno telukyali Lutobazi nga yatulaze Empapula n’ebipande ebikakasa nti NEMA ne KCCA ko ne Kkooti baabakkiriza okukozesa ekifo kino.
Wabula ye Muhammad Masembe omu ku bakozi yakkatirizza nti tebalina Tteeka lyonna lyebamenya nti era baakugenda mu Maaso n’okuzimba.
Kinajukira nga enaku zomwezi 12 omwezi ogwomukaga omwaka guno abatuze bbo mu lubiji mu municipali ye nasana bakerera mukiwonjobera oluvanyuma lwa kitongole kye nema okumenya amayumba gabwe banji nga nejebuli eno tebafunanga biffo bijja webasobola kubegeka lubba ngetabwe wava kubano mu kuzimba mutombazi.