![](https://www.radiocomnetu.org/mamafm/wp-content/themes/radiocomnetu/assets/img/banner/1500x300.jpg)
![](https://www.radiocomnetu.org/mamafm/wp-content/uploads/sites/12/2022/09/image1-150x150.png)
19 December 2024, 6:26 pm
Bya Annet Nakato
Abanywarwanda abali muggwanga nnyaffe Uganda bavuddeyo nebalonda akakiiko kabantu 12, nabantu abalala abagenda okulemberamu ku district nga eno balonze omuntu omu okukiika mu district eziri muggwanga nga bano bebanayitwangamu okutuusa ensonga zabanywarwanda kukakiiko akakulembera abanyarwanda.
Bino byasanguziddwa Kaitana Simon akulira abanyarwanda kulukiiko emengo bwabadde ayogerera mulukungana lwabannamawulire mukibuga Kampala.
Kaitana asinzidde wano nategeza nti batuziza taaba miruka ono okulaba nga bamanya akawonvu na kaaga saako kugonjola ensonga ezikwata ku abanywarwanda wano muggwanga.
Ye muna mateeka wabwe omubaka Mukasa Mbidde ategezza nga bwebagenda okwongera mu maaso nolutabalo era bakutuuka munsi yonna okusomesa abantu saako nokubajjamu okutitizi nga mukino bakubasomesa obuzibu webuva kuba buva mu kutteeka.
Mukwogerako n’omukubalondeddwa okukulira abakozi bagovernmenti ku lukkiko luno,Frank Sselubiri asiimye abanyarwanda abamutaddemu obwesigwe okubakikirira era nategeza nti ajja bawereza bulungi kuba nga bo abanyarwanda bakozi era bakweyiisa nga abakozi .
Asinzidde wano nategezza gavumenti nti yasisinkana akabinja kabanyarwanda kyokka abalala nebalekebwa amabega nga agambye nti ensonga yabanyarwanda siyensonga entono y’okutunulirwa.