Mama FM
Mulekere awo okukambuwalira abakyala b’embuto.-Hon Ronald Balimwezo
8 November 2024, 6:59 pm
bya Annet Nakato
Omubaka wa Nakawa East Eng.Ronald Balimwezo alabudde abasawo mu malwaliro ga gavumenti abakambuwalira abakazi b’Embuto ababa bagenze mu Malwaro okunywa eddagala.
Balimwezo okuta akaka kidiridde abakyala b’Embuto mu Nakawa okwemulugunya ku Basawo mu malwaliro ga gavumenti ababakambuwalira n’okubavuma nga bagenze okunywa eddagala.
Ono agamba nti abakyala b’Embuto bateekwa okukwatibwa obulungi mu malwaliro n’asaba abasawo okwekubamu Ttooki.
Balimwezo agabidde abakyala b’embuto Mama Kits,obutimba bw’ensiri n’asaba Minisitule y’Eby’obulamu okuteeka Eddagala n’ebikozesebwa ebirala okuteeka Eddagala mu Malwaliro nebirala.