Abakyala abafumbo bakubiliziddwa okubera abesigwa nokuyiiga okutereka kunsiimbi zebakola, amakka okusobola okunywera munsonga zebyenfuna nokwekulakulanya.
5 May 2023, 8:30 am
Bya Laila Ndagire
Okubiliza kuno kukoleddwa Omulabirizi wobulabirizi bwa West Buganda Kitaffe mu Katonda Henry Katumba Tamale bwabadde mulusiriika lwabafumbo abali mukitundu kyamassekatti ga Uganda oluyindidde ku Bishop Ssebagala hall mubulabirizi bwe Mukono.
Nalongo Roselyn Kawiiso omukulembeze wabakyala abafumbo mumasekati geggwanga akututidde abakyala okubera abamalilivu ela alambuludde eziimu kunsonga ezibategeseza olusirika luno.
Ye Muky. Sarah Ssewanyana omukulembeze wekibiina mubulabirizi bwe Mukono akubiriza abafumbo bulijjo okutambuliza obufumbo bwabwe kukusonyiwagana.
Amaka gatebenkedde ate nga genyigila okwejja mubwavvu yemu kungeri egenda okuyambako okutuliza ekilubirwa kyo kulwayisa obwavvu mu Uganda.
Uganda nga eliwamu ensi yonna basubira nti obwavu bujakuba luffumo mu 2030 singa ffena bannansi twenyigilamu mukawefube ono.