Obukadde buttano bwabaana bebafa buli mwaka nga tebanaweza myaka ettano munsi yoona
11 November 2022, 11:02 am
Bya Byamukama Aloysius
Abaana abato obukadde 5 nobutundu 5 be bafa nga tebanaweza emyaka 5 munsi yoona nga ensi ezikyakulakulana zezisinga omuwendo omungi okusinzira ku kitongole kyensi yoona ekyebyobulami ekya World Health Organisation.
Akulira ebyobulamu bwomumaka oba family health okuva mu kitongole kya World Health Organisation Dr Olive Sentumbwe nga ayogerako banamawulire ku musomo gwabasawo abazarisa sako nabakola mu byokulabira abaana abato agambye nti kyenyamiza okusanga abaana bafa mungeri eno.
Mungeri yemu agambye nti abakazi 4 bebafa nga bazala songa ate singa wabawo okukolera awamu mubasawo, abakyara bembuto, nabulilyomu akatubwako ebyobulamu abakyara bangi bayinza okutasibwa okufa.
Byte… Dr Sentumbwe ayogera kunsonga eno
Mungeri yemu asanyukidde ekya government okuwayo ambulance ezigendera ku mazzi okuyambako abantu abawangalira ku bizinga bino okufana obuweleza, wabura asambye abakyara beyo nti kyandibadde kurungi bwebaba nga babuzayo week emu basembera kumpi bave mu bizinga kuba entambula ekyabulamu nga ambulance zikozesa amafuta lita 200 nga kizibu okusituka nga enona omuntu omu.