Mama FM

ONC etongooza National Resistance Movement voters protectors identification

25 September 2024, 2:07 pm

Hajji Kigongo nga National Resistance Movement voters protectors identification.

Bannakibiina kya Nrm bakubiriziddwa okukuuma empiisa nekitibwa kyekibiina Kya Nrm wakati mukukuuma akalulu k’omukulembeze w’eggwanga aka 2026

Bino byasanguziddwa omumyuka wa ssentebe wa Nrm muggwanga, Alhajji moses kigongo bwabadde atongoza okusomesa abakulembeze okuva mubitundu byeggwanga ebyenjawulo kubutya bwebagenda okola okulaba nga bakuuma akalulu k’omukulembeze w’eggwanga mumwaka 2026 .

NGA bano abakubiriza okweyisa obulungi nga bakuuma akalulu okusobola okwewala emivuyo egirabikira mukulonda wabula abakutidde nobutalimbibwalimbibwa nga bagulibwa abo abali kuludda oluvuganya.

Mungeri ye akulira office ya Ssentebe wa Nrm etuula ekyambogo, Namyalo Hadija agambye nti batandiise okuteekateeka abantu babbwe mukiseera ekituufu nga babasomesa kubanga waliwo okulonda kumitendeeka ebyenjawulo nga abantu abagenda okukuuma obululu buno nga kino kijjakuba kizibu okubagulirira mukaseera kali aka 2026 NGA katuuse.

Bano batongooza enkola etumiddwa,National Resistance Movement voters protectors identification eno egendereddwamu okukuma akalulu ka Museveni omululu ka 2026.