Mama FM
Mama FM
30 April 2026, 4:19 pm

Bya Annet Nakato
Ministry y’ebyobulamu ekakasiza ng’omuwendo gw’abaana abakonziba gweyongede nga naabo abafuna omugejjo gweyongede.
Okunoonyereza kulaga omuwendo gwabaana abakonzibye guli ku bitundu 24 ku buli kikumi songa mu 2019 gwaali gwakka nga guli ku bitundu 19 kubuli kikumi.
Dr Oceng Prospero Grace omukugu mu byendya mu ministry yebyobulamu ategezezza nti embeera eno evirideko abaana okufuna ekirwade kya Anaemia nga kati kirinye nebitundu 73%.
Omwaana akonzibye omumanya nti yakonzibye nga nebwomutwaala ku somero yakwata byasoma nga bino byona bisobola okugwaawo singa abaana babaliisa enva endiirwa nebibala.
Kino kiwaliriza ministry yebyobulamu okukwatagana nekitongole kya Gain uganda akirungamya abantu ku ndya enungu okutegeka omwoleso gwa naku satu okusomesa bana Uganda ku ndya enungi nga gutandise leero mu kibangirizi kya bana makolero e Lugogo.
Muno bolesezza enva endiirwa ezabuli kika okuli Nebibala .

Akulira ekitongole kya Gain Damali Sali ategezezza nti ekizibu ekiri mu katale kwekufuuyira enva nebibala eddagala kyoka awade amagezi abalimi okufuyiranga nga ebulayo weeks 2 ebirime okujja ku katale.
Kyoka nabo abanasanga nga ebirime nadala enyanya nga nfuuyire kyoka nga ziri mu katale basabidwa okuzooza namazi agalimu omunyo.