Mama FM

Gavumenti eri mukukola ku teeka erina yambako abayizi abaliko obulemu okusoma

13 November 2024, 8:49 pm

Esther Kyozira ED NUDIPU.

Bya Annet Nakato

Minister Omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu Dr.JC Muyingo ategezeeza nga gavumenti bweri mukukola kutteeka eriyambako abayizi abaliko obulemu okusoma wamu n’okunyweeza enkola yaayo ey’okubagira okusoma mu matendekero agawaggulu.

Minister Okwogera bino abadde aggulawo olukungana olukwata kubayizi abaliko obulemu nga luno lwakuyindira ennaku bbiri ku ssetendekero wa Kyambogo.

Ono agamba nti government yakwongera kumuwendo gw’abayizi abawererwa gavumenti okuva kubayizi 64 mumatendekero agawaggula bangerweko.

Esther Kyonzira akulira ekibiina kya National Union for Disabled Persons Uganda agamba abayizi banji abalekeddwa emabega mubyensoma olwokubulwa etteeka eriyambako mukusoma kwabwe naye ngetteeka lino gavumenti elitulidde emyaka ejisoba mu 10.