

18 June 2024, 2:45 pm
By Annet Nakato
Ekibiina kya Disability Research Group nga bali wamu ne Uganda Research Unit ne Makerere University bakoze okunonyereza nekigerererwa kyokulanga nga batumbula ebyobulamu saako ne byenkulakulana bya bavubuka abaliko obulemu nga basomye okwetolola olukalu lwa Africa.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire, Namukasa Lilian akulira ekibiina kya bantu baliko obulemu ekya National Council for Disability ategezza nga bwebakola okunonyereza kuno okulaba nga bamanye ebibakwatako omuli ebirungi ne bibbi kiyambako gavumenti okubatekatekera obulungi.
Namukasa agenze mumaaso nategeza nga abamu kubavubuka abakugusse mu kunonyereza webagenda okufuna emirimu ekintu ekigenda okubayambako okwefunira kukigulira magala ediba.
Ono era ategezeza nga bwebaliko bavubuka abaliko obulemu 12 abafunnye obukugu obwenjawulo nga bayita mu kibiina kino nga bano batandiise okukola okusobola okwekulakulanya.
Ono era abasaba abantu bayina endoowoza nti bantu abaliko obulemu tebekolera nti kikyamu nnyo era nga bazze kino okusobola okukimalawo.