Mama FM
Ekitongole ekiramuzi kitukiriza ebirubirirwa byakyo okuva mu mwaka gwa 2021-2026
26 November 2024, 12:50 pm
Bya Annet Nakato.
Ekitongole ekiramuzi kigamba nti kikoze bulungi bwegutuuka kubiruubirilwa byakyo mu manifesto ya NRM 2021-2026.
Omuwandiisi ow’enkalakalira mu kitongole kino,Pius Bigirimana agamba nti okukozesa ekyuuma bikalimagezi kwosa nokwetanira tekinolojiya kweyongeddemu mukooti nga kino kyanguya enkola yemilimu nadala eli abalambuzi.
Ono agamba nti nomuwendo gwa kooti ezizimbiddwa gweyongedeko obunji mugwanga awamu nomuwendo gwabalamuzi gweyongedde,ekintu ekigenda okuyamba mukukolanga kumisango amangu,nga emisango minji nadala ejobusuubuzi jibadde jikyalemedde mu kooti.
Bigirimana bino abyogedde ayanjulira banamawulire byebasobodde okutuukako nga esiga edamuzi.