Gavumenti esabiddwa okusosowaza ensonga za bavubuka
19 June 2024, 4:32 pm
Bya Annet Nakato
Government esabiddwa okwongera okusosowazza ensonga z’abavubuka okusobola okutumbula embeera zabwe ez’abulijjo mwebawangalira.
Mulukungaana olw’okusatu okutegekeddwa wano mukampala olutumiddwa the 3rd National stakeholders Dialogue on adolescent health ekibiina ekyobwanakyewa ekya Pear To Pear Uganda nekigendererwa ekyokutema empenda mungeri gyebayinza okutumbulamu embeera zabavubuka n’okugyawo okusomozebwa kwebasanga naddala ne mumasomero.
Ebimu ebinokoddwayo bwebutaba newebakyusizza kumasomero songa nokwetuusaako sanitary pad eri abawala kusomomozebwa kwamanyi.
Abamu kubavubuka okuli Saida Nakijoba okuva mu Plan International ategezeeza nga abavubuka okubulwa ebikozessebwa mumasomero mubulamu bwabwe obwabulijjo bwekivirako abamu okuva mumasomero.
Ye Nasirumbi Sylvia okuva mu ekibiina ekyobwanakyewa ekya Amref Health Africa asabye bekikwatako okusomessa abavubuka kubyomukwano okuweebwa obukugu nobumanyirivu batya webasobola okuvunuka singa balina obuzibu bwonna bwebasanze muli ebikemo nemitego
Omubaka okuva mu county ya Lwamba Bundibujjo, Richard Gafabussa asabye abazadde okufaayo okulaba nga baana bali mumusomero okutangira kumitego gyebandisanze nga tebasaoma nga tebanamaririza.