

10 February 2025, 4:33 pm
By Annet Nakato
Gavumenti yayuganda ng’eyita muminisitule yebyasayansi,tekinologiya nobuyiiya wamu nebannasayansi okuva kuzzi ssetendekero za gavumenti erangiridde nga bwevumbudde ebika bye dagala lya herbal bibbiri eriwonya ekifuba, ssenyiga omukambwe nendwadde endala nnyingi ezikosa amawugwe.
Edagala erivumbudwa kuliko ekika kya Vidicine Kazire ne Tazcov era nga lyagezesedwa dda kubantu 510 emyaka 3yrs egiyise.
Minisita Musenero nabannasayansi abavumbudde edagala lino basinzidde kusunsuliro lya mawulire ga gavumenti mukampala nebagamba nti ekyokola edagala lyebakoze bali mukusa munkola kiragiro kya Pulezidenti Museveni kyeyabalagila,ekyokulaba nga Uganda efuka emu kunsi zAfrica ezekolera edagala.
Ono era ategezazzza ngekitongole ekivunanyizibwa ku ebyobulamu mu ensi yonna ekya World Health Organisation bwe kyakakasiza eddagala lino era nga lyakutandiika okukozesebwa mu ggwanga kuba lyasangiddwa nga terikosa muntu yenna.
Musenero agamba kati bakuwandikira National Drug Authority okukiriza eddagala lino okutandiika okugènda ku katale.
Mulukugana lwelumu yye Prof Dr Pauline Byakika Kibwika naye asinzidde wano nayogera kumuwendo gwabaana abatanaweza myaka e 5yrs ababade bafa ebilwadde egyekusa ku ssenyiga ebifuba namawugwe nga bwebigenda okendela olwekula lyedagala bannasayansi ba Uganda lyebavumbudde.
Ebibalo byabakugu kumuwendo gwabaana ababadde bafa olwebifuba biraga nti kubuli baana emitwalo 100,000, abatanasusa myaka e 5yr buli mwaka 21 babadde tebawona nga byebitundu 16%.