Mama FM

Ekibina kya CEHURD kivuddeyo okulwanirira abasawo ba intern doctors

9 August 2024, 3:40 pm

CEHURD ne ba intern doctors nga bogerako ne bannamawulire.

By Annet Nakato.

Ekibiina omwegattira abasawo muggwanga ekya Uganda Medical Association kiddukide mubannamateeka okwongera okuteeka gavumenti kunninga okwongera ku muwendo gw’abasawo abalina okugezesebwa mu malwaliro ga gavumenti.

Bino bikakasidwa oluvanyuma lw’abakulembeze b’abasawo bano okusisinkana bannamateeka abalwanirira eddembe ly’eby’obulamu okuva mukibiina Kya Center for Health Human Rights and Development (CEHURD) nebabalopera embeera ey’okunyigirizibwa gyebayitamu nga ensisinkano eno ebadde mu Kampala.

Akulira ebyamateeka mukibiina kya CEHURD Jane Namaganda Kibira wano wasinziride naawa gavumenti saleesale wa mweezi gumu ebeere nga emaze okukola kunsonga z’abasawo .

Gavumenti singa eneremererwa Namaganda agamba nti bamaze okutegeka bannamateeka abawerera ddala abagenda okuyambako okuwalawala gavumenti ne ministule y’ebyobulamu mu kkooti .

Akattiriza nti kino basazewo bakikola olw’okulwanirira eddembe lya bannayuganda ery’ebyobulamu olw’ensonga nti abasawo bano bonna bwebabeera tebakkirizidwa genda mu malwaliro kugezesebwa kitegeeza nti n’omuwendo gw’abasawo mu malwaliro ga gavumenti gubeera gugya kubeera mutono ddala bwogerageranya n’obungi bw’abalwadde .

Omuwandiisi mukibiina omwegattira abasawo Dr Joel Mirembe Nsubuga annyonyode nti abasawo abasoba mu 1000 bebali mukattu mukiseera kino oluvanyuma lwa ministule y’ebyobulamu okubaleka ebbali nebasaba okulinda okutuusa omwaka ogugya ekintu bo kyebatakiriziganya nakyo.

Okusinzira ku mateeka agafuga eby’ebyobulamu muggwanga omusawo yenna amaze okusoma ku yunivasite nattikirwa ateekedwa okubaako eddwaliro lya gavumenti lyonna lyakoleramu mungeri y’okugezesebwa okumala ebbanga lya mwaka gumu .