Ebyuuma byaffe byonna bikola UCI
16 May 2024, 10:51 pm
Bya Annet Nakato
Edwaliro ekulu erijanjaba Kokkolo erye Mulago,li Uganda Cancer Institute livudeyo nerisambaja ebyogerwa bannabyabufuzi nti terikoze kimala munsonga z’okujanjaba Bannansi kokolo, abakulu muddwaliro eryo Bali kumalya gansimbi.
Bano okuvayo okusambaja bino kidiridde okunyizibwa akakiiko ka Palamenti, ka Public Accounts Committee sabiti ewedde nga kabanenya okujja kubalwadde ensimbi enyingi okubawa obujanjabi saako nokuba nti tewali Byuma bimala kutuusa obujanjabi eri ababwetaga.
Dr.Jackson Oryem Ssenkulu wa Uganda Cancer Institute wamu nabakungu mukujanjaba Kokkolo obwenjawulo okubadde Dr Luutu Israel ne Dr Cissy Namutale balambuza bannamawulire edwaliro lye Mulago okutalaga ebyuma ebiri kumutindo saako nensimbi mmeeka buli Muwadde zalina osasula.
Yye Dr Cissy Namutale agenze mumaso nokwogera kumuwendo gwabalwadde bebafuna buli lunaku ,na kika kyabantu balwadde Cancer kika kki.
Netegezza nga buli lunaku webafuna abakyala abakujanjaba kokolo wa nabaana wakati we 10-12.
End