Mama FM

OBWAVU obuyitiride ,okunywa omwenge n’okukozesa ebiragalalagala bivirideko omuwendo gwa bannayuganda abatabuka emitwe okweyongera nga kino kitwalidemu n’abaana.

21 May 2025, 2:59 pm

Dr.Lukwata nga ayogerako eri bannamawulire

Bya Annet Nakato

ALipooti efulumizidwa ministule y’ebyobulamu eraze nti ku buli bannayuganda 3 kuliko omu omutabufu w’omutwe nga obuzibu buvude mukwenyika ennyo mubirowoozo n’okusoberwa.

Bweyabadde afulumya Lipooti eno akulira offiisi evunanyizibwa kundwadde z’emitwe mu ministry y’ebyobulamu,Dr Hasfa Lukwata yategeezeza nti kati abalwadde muddwaliro e Butabika bangi nnyo saako nemu malwaliro ga gavumenti ag’omubitundu kyokka ekikwasa enaku bangi ku balwadde batusibwayo kikerezi nga kino bakitadde kukubera nti basooka mukulowoleza mu malogo era mukifo ky’okutwalibwa obuterevu mu malwaliro babasoosa mu masabo ate abalala mu makkanisa gyebamala ebbanga nga babasabira ebyembi nebatakyukako okugyako okwongera okuba obubi.

Annyonyode nti obuzibu okusinga buvudde kukubera nti abantu bangi kati emirimu gyabagwako ,balina abaana bangi bebatasobola kulabirira ,babanja fiizi z’amasomero ,abalala balima ebirime nebibafaako ate abalala bafiridwa nnyo abenganda zaabwe kaale bwebatyo nebasigala mukwewunika .

N’abaana abato okuli n’abavubuka nabo Kati emitwe gibatabuka olwo okweralikirira kyebanalya nga bazze ewaka okuva ku masomero ,abalala waaka gwebabawa omungi ku masomero naye aberalikiriza so nga n’obwavu ewaka nabwo buli lwebabulowozako benyamira.

Alipooti era yalaze nti abantu ebitundu 60 kubatabuse emitwe obuzibu buvude ku kwekomerera mwenge era bwebatyo bawanjjagide palamenti etteeka ly’omwenge liddemu lyanjulwe era likubaganyizibweko ebirowoozo wakiri wabeewo amateeka amakakali gebongera okuteekawo.

Mungeri yeemu abakungu mu ministule y’ebyobulamu balaze obwetavu bwa gavumenti okwongera ku muwendo gw’abasawo abajjanjaba abalwadde b’emitwe okuli naabo ababakumakuma obutagwamu ssuubi , kizulidwa nti kyenkana omusawo omu abeera n’abalwadde wakati wa 25 kwa 37 babeera alina okujjanjaba n’okubudabuda buli lunaku ekintu ekizitoyeza ennyo enkola y’emirimu.