Mama FM

SEATIN etongooza omukutu gwa ogutumiddwa Seatin Coffee app.

8 July 2025, 7:27 pm

Bya Nakato Annet.

Ekitongole ekitaba abasubuuzi mu maserengeta n’obuvanjuba bwa Africa ki SEATINI UGANDA kisabye government okwegatta kumukago gwa East Africa ogwobusubuuzi kiyambeko mukwongera ku bbeeyi n’akatale k’emwanyi akeggwanga Uganda.

Okusaba kuno kukoleddwa Kafeero Herbert akulira enzilukanya y’emirimu mu kitongole kya Seatuni Uganda bwababadde munsisinkano n’abalimi , ministry y’obulimi , ekitongole ekivunayizibwa ku mwanyi ki Coffee Development center abalimi wamu nabala ku hotel Afriacana mu kampala

.Kafeero agamba nti ebbeeyi y’emwwanyi wano mu ggwanga esse nnyo olwensonga nti bannayuganda tebajumbidde kusozesa mmwanyi nga kino ky’ongera n’okussa omutindo kyagambye nti kiletera akatale k’emmwanyi okuba wansi nebbeeyi okukka.

Era wano wasinzidde nasaba government yegatte kumugako gwamawanga ga east Africa ogwokuteeka ensimbi mukutumbula akatale kemmwanyi era nasaba nebannayuganda bongere okukozesa emmwanyi mubitnu ebyenjawulo ngeddagala, obuwooowo n’ebilala.

Munsisinkano yemu era batongozza n’omukutu gwa tekinologiya omupya owomutimbagano nga wakuyambako okulondoola ebbeeyi y’emmwanyi , okumanya embeera y’obudde okusobola okuteekateeka obulungi ebyokulima wamu n’okumanya endowooza zabalimi nga bayita kumukutu guno.