Mama FM

Emigogo gy’abagole 14 gyigatiddwa wakati mu kukuzza olunaku lwa bagalana

13 February 2026, 5:03 pm

Bya Annet Nakato.

Ekitongole ekivunanyizibwa mukugaba endagamuntu mu ggwanga ki Nira kirabudde bannauganda abateekateeka okufuna obufumbo bwabwe obutukuvvu obutagatibwa mu masinzizo gatalina lukusa okuva mu government (licences )kuba obufumbo bwabwe bubera bwampewo nga tebukakasiddwa .

Bino webijidde ng’ekitongole kino kigaase emigogo gyabagole 14 nga ebimu ku bikujjuko byokujjaguza olunaku lw’abaggalana

Ebiseera ebisinga obungi abagalana ababera basazewo okugatibwa mu bufumbo obutukuvvu besanga nga bagenze mu masinzizo agenjawulo nga kwotadde ne mu mizikiti okugatibwa mu bufumbo buno nga bangi babera tebamanyi nti oba amasinzizo gano gabera mu mateeka oba okubera ne

Embeera eno eviriddeko ab’ekitongole kya Nira okuvayo okulabula abafumbo mu ggwanga okubera abegendereza ennyo nga bekenenya nnyo amasinzizo gano nga balina kugatibwa mwago agalina okuba nga gakakasibwa government.

Commissioner NIRA nga ayogerako eri abamamawulire

Comissioner civil registration Nira,Vicent Katutsi agamba nti abafumbo singa baabera babagatidde mu makanisa agatalina licence obufumbo bwabwe bubera bwampewo nga tebuli mu mateeka .

Mubagatiddwa mulimu abagole okuva mu mawanga agenjawulo okuli Congo ,Eritrea ,Sudan wamu nabannauganda abawangalira wano nga kabadde ketalo kennyini ku kitongole kya URSB e kololo nga abagole bano bagatibwa.